Bya samuel ssebuliba.
Agavva mu gwanga lya kenya galaga nga eby’okulonda kweno bwebyongedda okukaluba, nga kino kidiridde nate kooti enkulu mu gwanga lino okukiriza omuntu ow’okusatu okw’egatta mu lw’okano lw’obwa president.
Akiriziddwa ye munna-Thirdway Alliance Ekuru Aukot,nga mukaseera kano omulamuzi wa kooti enkulu Justice John Mativo alagidde nti ono abeere omu kwabo abagenda okuvuganya kubwa president nga October 26 .
Omulamuzi agambye nti okulonda kuno bwekwaali kusazibwamu kooti yagamba nti kudibwemu buto, kale nga kitegeeza nti buli omu wadembe okwetaba mu lw’okano, sosi babiri bokka.