Skip to content Skip to footer

Ebitongole bya gavumenti ebitagasa byakugattibwa.

Bya samuel ssebuliba.

 

Ministry ekola ku nsonga z’abakozi ba government etegeezeza nga bwegenda okutandika okulongoosa , kko n’okugatta ebimu ku bitongole bya government obutasukka November omwaka guno.

Kinajukirwa nti omwaka guno omukulembeze we gwanga aliko ebaluwa gy’eyawandiika nga agamba nti ebitongole bya government nga 40 byeetaga kutunulamu bwekiba Kisoboka  bigatibwe.

Twogedeko ne minister akola ku nsonga z’abakozi ba government Muluuli Mukasa n’agamba nti buli kyetagisa kiwedde, era nga alipoota erambika kino bwekigenda okukolebwa ewedde.

Leave a comment

0.0/5