Bya Sam Ssebuliba
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde Ssabaminista we gwanga Dr Ruhakana Rugunda okunyonyola, lwaki omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulany takyakirizibwa mu bivvulu.
Omubaka Kyagulanyi era amanyiddwa nga Bobi Wine alopedde spiika, embeera gyayisbwamu, obutamukubiriza kubeera na bivvulu yadde okwetaba mu kusaba.
Agambye nti kino kilinyirira eddembe lyo ngomuyimbi.
Wano omukubiriza wa palamenti alagidde gavumenti nti etekeddwa okunyonyola.
Ate abategesi ebbivulu mu gwanga bategeezezza nga bwebategenda kussa mukuno okutuusa nga police eddirizza ku mateeka geyatadde ku bategesi bebivulu, nga kwogasse nokugaana Bobi wine okutegeka ekivulu awatali nsonga n’ambulukufu.
Bano nga bakulembedwamu omukwanaganya w’ekibiina ekitaba abategesi bebivulu Tony Ssempijja bagambye nti batambudde kubuli gwekikwatako nga tebayambiddwa, wabulanga tebagenda kukoowa okutuusa ngensonga eno ekoledwako.
Ono agamba nti ensonga yomubaka Bobi wine okugaanibwa okutegeka ebivulu tebagenda kugivaako.