Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ekakasizza nti abantu 19 bebafiridde mu kabenje akagudde mu kitundu kye Soei mu town council ye Sipi ku luguudo oluva e Kapchorwa okudda e Bulambuli mu district ye Kapchorwa.
Omugoba we mmotoka kika kya baasi namba UG 2833/E eyetendekero lya Kiryandongo Technical Institute emuremeredde, ku kayingiringito negwa, netuga abantu abawerako.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sebei, Rogers Taitika baasi eno ebaddemu abakozi mu kitongole kyobwa nakyewa ekya National Cooperate Business-Link of USA, okuva e Masindi ga babadde bava kulambula e Kapchorwa.
Emirambo gitwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Kapchorw, atenga abasigadde baddusiddwa mu mawaliro agenjawulo nga abayolayola.