Skip to content Skip to footer

Abagambibwa okuba abasiyazi babakutte

Poliisi ye Kabagalaga eriko abantu 10 bekyakuumira mu buduukulu bwayo oluvanyuma lw’okubakwata akawungeezi akayise okuva mu bbaala ya Venom nga babatebereza okubeera abasiyazi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emiliano Kayima agambye nti waliwo abaabatemezzako nti waliwo abantvenomu abaabadde bakubye olukiiko wabula nga tebategerekeka nga bagamba bandiba nga benyogira mu bikolwa ebyokweggula bbuutu.

Poliisi yasitukiddemu n’ebakwata nga kati bakuumibwa ku poliisi ye Kabalagana babakunya.

Kayima agamba bakyanonyereza ku baakwatiddwa nga era singa banazulibwa nti bavuzi ba mpaka bakuvunanibwa nokukola omukwano ogwekifuula nnenge bakuvunanwa.

Leave a comment

0.0/5