Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko kebyokulonda kongezaayo entekateeka yokuwandiisa abanavuganya ku bukiiko bwabakyala ku byalo, okubadde kukomekerezebwa olwaleero.
Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka womwogezi wakakiiko kebyokulonda, Paul Bukenya atubulidde nti bafunye okwemulugunya okuva mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo kungeri enkuba gyebatataganyizaamu.
Entekateeka kati ejjulidde lwankya
Okulonda kwobukiiko bwabakyala kwakubaawo wiiki ejja ngennaku zomwezi 14.