Skip to content Skip to footer

Asse mukyalawe lwa nyama

violencePolice ye Luuka egalidde omusajja wa myaka  27 ngono kigambibwa y’akidde mukyala we n’amukuba nasigalako katetera, ngoluyombo lwavudde ku nyama omwami gyeyaguze awaka.

Samuel Lugada omutuuze we Bugoba mu ggombolola ye Bukanga yeyakidde mukyala we Catherine Lugada namukuba ngamunenya okuddira ennyama yonna nagigabira abagenyi.

Akolanga omuddumizi wa poliisi mu district ye Luuka Vincent Elema akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono nategeeza nti kati akumibwa ku poliisi e Nakabugu ng’okunonyereza bwekugenda maaso.

Leave a comment

0.0/5