Ate omusajja mu district ye Mayuge asabye poliisi okumuwa omutwe gwa muganda we, ogwatwaliddwa okwekebejjebwa.
Ahmed Sanyu omutuuze ku kyalo Bukunja mu ggombolola ye Busakira agamba omutwe gwa muganda we Ahmed Batambuze gwatwalibwa poliisi omwaka oguwedde okutuusa kati teguzibwanga.
Ono muganda we yabula okuva awaka omwaka oguwedde wabula oluvanyuma embwa zalabwako nga ziwalabanya akawanga akaali kateberezebwa okuba aka muganada we ono.
Kati akawanga kano Sanyu agamba kalina ekifananyi kya Batambuze yennyini.
Poliisi yatwala akawanga kano wabula tebakazanga nga nokuziika, omugenzi okumuwumuzza mu nnyumba ye eyoluberera tekukolebwanga.
Omuddumizi wa poliisi e Mayuge Denis Odoki bibadde tebifulumanga, nga wabaddeo okukerewa ekirwisizaawo poliisi okubawa akawanga kano kuba tebanyidde ddala kituufu.