Skip to content Skip to footer

UMEME bagikubye mu kkooti

UMEMEWaliwo omukazi akubye kampuni ya UMEME mu kkooti bamuliyirire obukadde 100 olwomuliro ogwava ku masanyalaze okusanyawo ekkolero lye erye mmwanyi.

Irene Nankabirwa agamba nga  10 February 2016  aba UMEME  bateeka talansifooma empya ku kkolero lye erosangibwa wali e ssemuto wabula wayita ennaku 4 zokka nelikwata omuliro lwabulagajavu lwabayunga ziwaya.

 

Nankabirwa alumiriza aba UMEME okukozesa abantu abatalina bumanyirivu mu mirimu gyabwe.

 

Kati kkooti ewadde aba UMEME ennaku 15 zokka okwewozaako.

Leave a comment

0.0/5