Bya Malikh Fahad
Abavubi ku mwalo gwe lambu e Masaka bavudde mu mbeera, nebawakanya omusolo ogwomudiringanwa, bagamba ogubatekebwako ekitongole ekiwooza.
Ssentebbe wabavubi Hajji Hamidu Ssemujju agambye nti ssi kya bwenkanya.
Bano bemulugfunya nti basasula license ebakiriza okukola, ya mitwalo 10 , omusolo ogwemitwalo 3 nomusolo omulala ogwemitwalo 25, wabula bagamba gwebategeera bulngi.
Bino bibadde mu nsisinkano yababaka ba palamenti aboludda oluvuganya gavumenti.
Kati ono era yemulugunya nti tebalina bukuumi, olwababbi ababbako yingini buli kadde.
Nampla woludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda, agambye nti bagenda kukola alipoota, gyebagenda okutuusa ei ababaka ba palamenti.