Amawulire

Abalimi b’emmere y’ensigo bali mu kutya

Abalimi b’emmere y’ensigo bali mu kutya

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, balimi b’emmere ey’ensigo omuli ebinyebwa kasooli ebijanjaalo saako n’ebirala bali mu kutya oluvanyuma lw’abakugu mu bya sayaansi okwongera okukizuula nti obuwuka obw’obulabe bwe bayita aflatoxins bwongedde okumalawo ensigo zaabwe.

Okusinziira ku Professor Ackleo Kaaya okuva ku e Makerere obuwuka buno bwa mutawaana nyo kubanga bwongedde okubonyaboonya abalimi n’abalunzi naddala abo abatereka emmere yensigo.

Pulofeesa akubiriza abalimi b’e mmere y’ensigo okufaayo kunyanika n’entereka y’emmere y’ensingo zaabwe kuba obuwuka we businga okuyingirira