Bya Moses Ndaye, Ekitongole ekivunanyizibwa ku mazzi ne kazambi ki National Water and sewerage corporation kisabye bannauganda okukomya okukola ebikolwa ebikyafuwaza ensulo z’amazzi
sentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kino Dr. Christopher Ebal agamba nti abantu abonoona obutonde balina engeri gye bakosamu ensulo ozivaamu amazzi getukozesa, ekivirako ab’ekitongole kino okukozesa obuwanana bw’ensimbi mu kugula eddagala lye bateeka mu mazzi okutta obuwuka.
Ono mungeri yemu asabye govt okuteeka mu nkola amateeka agaliwo okusobola okulwanyisa enkyukakyuka mu mbeera yobudde.