Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko ke byókulonda kaweze kamera okutuuka mu bifo awalonderwa
Bino byogeddwa sentebe wa kakiiko omulamuzi Byabakama,bwabadde asimbula ebikozesebwa mu kulonda okugenda mu disitulikiti ezenjawulo wali kutterekero lyabwe e Banda
Ekyokuwera kamera awalonderwa byabakama agambye nti kigenderedde kukuuma kalulu okusigala nga kakyama
Mungeri ye byokwekuba selefi mu kifo awalondererwa biwereddwa
Wabula Byabakama akkiriza bannamawulire okukozesa amasimu gaabwe ne kamera okukuba ebifananyi