Skip to content Skip to footer

abantu abénjawulo bogedde mu mugenzi Omusumba Kaggwa

Bya Gertrude Mutyaba,

Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale asabye banna Uganda okwagala ennyo obuwangwa bwabwe.

Katumba asinzidde ku lutikko e Kitovu mu kusabira Omugenzi eyali omusumba we Masaka John Baptist Kaggwa naagamba nti okusosola mu mawanga kyekisinze okuleeta obuzibu mu ggwanga.

Ono era asabye banna byabufuzi okukomya omuze ogw’okweremeza mu bukulembeze balekere n’abalala bakulembere.

Omumyuka w’omukulembeze we ggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi naye akungubagidde omugenzi era amwogeddeko ng’omusajja abadde ow’enkulakulana.

Ye Omusumba we Masaka Serverus Jjumba asabidde omugenzi okuwummula emirembe.

Omusumba Kaggwa aziikiibwa leero e Bukalasa.

Leave a comment

0.0/5