Amawulire
Mandela Afudde
Ensi yonna ezukuukidde ku mawulire g’ennaku ag’okufa kw’eyali omukulembeze w’eggwanga lya South Africa omudugavu eyasooka Nelson Madiba Mandela.
Ku myaka 95 kwafiiridde Mandela yakulembera eggwanga lya South Africa ekisanja kimu kyokka okuva mu 1994 okutuusa mu 1999.
Ekyewunyisa ono yali yakamala emyaka 27 mu kkomera wabula neyefiiriza obukulembeze mu nkola ya demokurasiya ewekimemente.
Ono Amaze akabanga ku ndiri nga atawanyizibwa obulwadde bwamawuggwe.
Bw’abadde alangirira okufa kw’omuzira w’ensi , omukulembeze w’eggwanga lya South Africa aliko kati Jacob Zuma agambye nti tewali kubuusabusa Mandela ali mu mirembe kati.
Mu bigambo bye Zuma bwati:
“Eggwanga lifiiriddwa omutabani owebyafaayo, tubadde tukimanyi nti olunaku luno lulituuka naye tekigyawo kunyolwa kwetulimu kati”.
Ye omukulembeze w’eggwanga lya Amerika kadugala Barak Hussein Obama ategeezezza nga bwali omu ku bukadde bw’abantu mu nsi yonna abafunye ekyokulabirako okuva eri Mandela era alagidde bendera za Amerika zonna zikke zewubire mu kitundu.
Ate mu ggwanga lya Tanzania presidenti waayo Jakaya Kikwete alangiridde ennaku 3 ezokukungubaga nga nayo bendere z’eggwanga zakwewubira mu kitundu.
Bino by’ebitonotono ku byafaayo by’omugezenzi Nelson Mandela
Mandela yazalibwa mu mwaka gwa 1918 wali mu Eastern Cape
Mu 1943 yegatta ku kibiina ky’ebyobufuzi ekya African National Congress
Mu 1956 Mandela yagulwako emisango gy’okulya munsi ye olukwe wabula oluvanyuma lwomusango guno okuwulirwa okumala emyaka 4 , yejeerezebwa.
Mu 1962 yaddamu nakwatibwa nagulwako emisango okuli okukuma omuliro mu bantu n’okuva mu ggwanga nga tarina Passipoti era yasibibwa emyaka 5.
Mu 1964 Mandela yasibibwa mayisa oluvanyuma lwabazungu abafuzi b’amatwale okumusingisa emisango egyenjawulo.
Wabula mu 1990 Mandela yayimbulwa okuva mu kkomera era mu 1994 nalondebwa nga omukulembeze w’eggwanga lya South Africa omudugavu eyasookera ddala.
Ekitali ku ba bakulembeze ba Africa abalala, Mandela yalekulira mu 1999 oluvanyuma lw’ekisanja kimu kyokka mu bukulembeze.
Mu 2001 abasawo bakizula nti Mandela yalina ekirwadde kya kookolo era olw’obukosefu, mu 2004 yenenya obulamu bw’olukale nadda ewaka abeere n’abenyumba ye okutuusa lw’afudde.
Weeraba Mandela, ddala oli muzira.