Skip to content Skip to footer

Munyagwa agobye aba URA mu kakiiko

Bya Kyeyune Moses

Abakungu okuva mu kitongole kya URA ekiwooza kyomusolo  bagoeddwa okuva mu kakaiiko ka palamenti aka COSASE, nga kakubiriizibwa ssentebbe waako, omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa.

Bano kidiridde okweyanjula mu kakaiiko nga tebali ne ssenkulu wekitongole, Doris Akol.

Akakiiko olwaleero kabadde kasubira nti Commissiona General wa URA waawkanukula ku kwemulugunya, okwalabikira mu laipoota ya ssababalirizi webitabo bya gavumenti eyomwaka 2014.

Mu alaipoota eno kigambibwa nti baaalaga omusolo mutono, okusinziira ku gwebasolooza saako ne vvulugu agambibwa, okwetobeka mu nsismbi ezaavanga mu byamaguzi byebabowa.

Aba URA ababadde bakulembeddwamu Henry Saka, bategezezza nga mukama waabwe Akol bweyatambudde, ngali mu South Africa gyagenda okumala wiiki 2.

Kati Munyagwa agambye nti bino Akol yabadde asobola okubyanukulako.

Leave a comment

0.0/5