Bya Damalie Mukahye
Abantu 5 bafiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Okusinziira ku muwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga, Charles Ssebambulidde akabenje kano kagudde ku kyalo Wakisanyi okumpi nomugga Kafu mu district ye Kiryandongo.
Bus namba UAQ 045/O ebadde ekubyeko abasabaze ebadde edda e Gulu eyambalaganye ne mmotoka kika kya Prado UAY 727/Q bwenyi ku bwenyi, ebadde eva e Gulu okudda e Kampala.
Ssebambulidde ategezeza nti Prado ebadde egezaako okuyisa aemmtoka 3 ezibadde mu maaso, kwetomeregana ne Bus.
Abantu 5 ku 6 ababadde mu Prado bafudde.
Abafudde kubaddeko Suubi Irumba Robert owe Kireka, Moses Mukwaya owe Njeru, Ronald Twebembeire omusirikale wa poliisi nabalala.
Ate emirambo gyabalala abatanaba kutegerekeka jitwaliddwa mu ddwaliro e Kiryandongo.