Bya Benjamin Jumbe
Akawungeezi kano, waliwo omukyala owemyaka 23 ategerekese nga Mariam Nalukenge akubyewo obweza obwa balongoo, ku mabbali ge kkubo okumpi ne ssomero lya Old Kampala S.S
Nalukenge abadde kuka boda boda, nalumwa ebisa era nazalira ku bbali, oluvanyuma addusiddwa okumutwala mu ddwaliro.
Okusinziira ku mwogezi wekitongole kyabaddukirize ekya Red Cross Irene Nakasiita, waliwo owomusalaba omumyufu amauyambye Drake Lule, ngono abadde akaola dduyiro.
Oluvanyuma bamufunidde ambulance nebamuddusa mu ddwaliro e Mengo.