Bya samuel ssebuliba.
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, aliko obubaka bwamazalibwa bwawerezza eri obuganda.
Mububakabwe, ssabasajja kabaka agambye nti ‘’Kasookedde tujaguza mazalibwa ga Yesu Christo mu mwaka 2016 tuyise mubiseera bingi eby’engeri ezitali zimu omwo nga mwemuli ebyesanyu n’eby’enaku.
Tufiiriddwa banaffe bangi abakoledde ensi yaffe wamu n’egwanga nga beesigama ku mazima n’obwenkanua.
Abasinga babade bamizzi, tebatiridde Namulondo, era batuwadde amagezi n’okulambika obulungi enono n’obulombolombo bwa Buganda bwebutekeddwa okubeera.
Kale Kyetuva tukubiriza banaffe abasobola bulijjo okufubanga okuwandiika ebitabo ebikwata kunsi yaffe , naabo abaligya mu mirembe egy’omumaaso baleme okubuzibwa.
Nga mwena bwemumanyi omwaka guno tusimbye nyo esiira ku kukalatira abasajja n’abakyala okuba abasaale mukulwanyisa akawuka ka mukenenya.
Engabo bulijjo twongera okugirumisa amanyo okutuusa nga mukeneya akenderedde ddala, sinakindi nga atuulidwa ku nfeete.
Nandayagedde omwaka ogujja buli kitongole kituukirize ebyo ebikisubirwamu nga buli muwereza akola n’amaanyi ge gonna okulaba nti tuyingiza ensimbi mu gwanika ezinatusobozesa okutuukiriza eby’enkulakulana yaffe, nga tusikiriza ne bamusiga nsimbi okukwetagako.
Nziramu okukubiriza abantu baffe okusomesa abaana ,okubeera abayonjo n’empisa era abantu balamu nga mwewala emizze egy’obuli bwenguzi n’obulyake , tusengamu ekitiibwa n’okukomya okutyobola eddembe lyobuntu.
Mbagaliza ssekukulu yesanyu nomwaka omugya ogwemirembe.