Bya Ritah Kemigisa.
Ssabasumba w’esaza ekulu eya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avudeyo nategeeza nga abamawulire bwebaakwata obubi ebigambo ebyayogerwa omulangira we ekelezia Papa Francis bweyategeza nti esaala ya kitafe ali mugulu wavuuvulwa bubi, kale nga egwana kuterezebwa.
Ssabasumba Lwanga agamba nti papa yagamba nti akanyiriri akagamba nti totutwala mu kukemebwa kavunubulwa bubi okuva mu lulatini n’olugereeki, kale nga keetaga kutereeza.
Wabula ssabasumba agambye nti kino teyakyogera mungeri yakulagira, wabula yali yebulirira ku kanyiriri kano.
