Bya Ritah Kemigisa
Oluvanyuma lw’ababaka ba parliament okuyisa ebago ly’eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, bbo banna FDC bategeezeza nga bwebagenda okutandika kaweefube ow’okuwakanya ebago lino nga 9thJanuary 2018.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wali ku luguudo Katonga, Dr Col Kiiza Besigye agambye nti bakola kyona ekisoboka okulaba nga semateeka ono eyazanyidwako adamu okuterezebwa.
Besigye agamba nti kawefube ono tagwana kubeera wa FDC yekka, wabula banna-uganda bonna kubanga eno ensonga ekwata kubuli Muntu
Ono yatandiise nakuvumirira ngeri ssemateeka ono gyeyakyusiddwa, kyagamba nti ababak bano tebaagoberedde mateeka galambikiddwa.
Besigye agamba nti ekyakoleddwa kwabaddde kujja biziyiza ku bukulembeze bwa uganda, kale nga webituuse President wadembe okufuga okutuusa nga akooye