Amawulire
Abatujju bazzeemu okwewerera Uganda
Abatujju bazzeemu buto okwewerera Uganda.
Bano ku luno batunuulidde basundiro ga mafuta n’ebifo ebirimu abantu abangi nga bulijjo
Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bafunye amawulire agakakasa nti abatujju bano tebatudde.
Nabakooba agamba nti basazeewo okwongera okunyweeza eby’okwerinda mu bifo eby’enjawulo naddala mu biseera by’ennaku enkulu mu bivvuli ebitali bimu
Kino poliisi erabika etandise okukituukiriza nga basajja baayo abakola ku by’obutujju bakedde kweyiwa ku ttendekero lye Makerere nga bakebera buli ayingira n’afuluma.
Baleese n’embwa ezikonga olusu nga zino zikebedde ekifo kyonna
Akulira poliisi ye Makerere, Michael Mugabi agamba nti kino kyakubaawo okutuusa ng’embeera eteredde n’asaba abayizi okukolagana nabo.