Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayiga yegasse kunsi yonna okulaga okunyorwa olw’okufa kwomuduvau eyasooka okufuga ku gwanga lya South Aafrica Nelson Mandera.
Ono nga ayogerera mulukiiko lwa Buganda olukomekereza omwaka , owek mayiga agambye nti ono abakulembeze bonna mu Africa basaana bamuyigireko okulekalagana .
Katikiro agambye nti abakulembeze mu Africa kkone uganda basaana bayige nti okulekeragana kabonero kabugunjufu , era kyakulwanyisa ekimalawo obutakaanya .
Ono amwogedeko nga omukulembeze atazikawo, eyatuuka nokusonyiwa abamujoonyesa okumala emyaka 27 mu komera awataali musango