Abasuubuzi abagenda okukolera mu katale akagya ak’eWandegeya olunaku olwaleero tebalabiseeko mulukiiko olubade lutegekedwa ekitongole kya kcca.
Okusinziira ku Amyuka omwogezi wa kcca Robert Karumba , luno olukiiko lubade lwakukiriziganya kungeri gy’ebagenda okutambuzaamu emirimo gyabwe , kko ne’nsimbi ez’okusasula.
Wabula bano bakanze kulinda basuubuzi nga mpaawo alabikako , bwebatyo nebasalawo okusazaamu olukiiko luno.
Kinajukirwa nti Abasuubuzi bazze beemulugunya kunsimbi enyingi kcca zeeyagala okubakana,songa akatale kaakatandika .