Bya Ritah Kemigisa
Olukiiko lwekibiina kya NRM olwa Central Executive Committee lulonze Jacob Oulanyah, gwebagenda okuwagira ku kifo kya sipiika wa palamenti.
Oulanya abadde amegana ne Rebecca Kadaga ku kifo kino, munda mu kibiina.
Kadaga wabula yabadde alabudde nga bwagenda okuvugany nga namunigina.
Oulanya wabula yabadde alabudde nti obutamuleka kuvuganya kubwa sipiika, kinaaba kivumo, kubanga baali beyama omulundi ogwedde.
Bino byebyabadde ebigambo bya Oulanyah, ku lunnaku Lwokutaano.
Ku kifo kyamyuka sipiika, CEC eremereddwa okukaanya, era bawaddeyo amannya gabantu 3 okuli Thomas Tayebwa, Anita Among ne Robinah Rwakoojo aba National Executive Committee (NEC) balonde.
Abantu 6 bebabadde balaze obwagizi ku kifo kino okuli, ngabalala kuliko, Theodore Ssekikubo, Robinah Nabbanja ne Jacob Oboth Oboth.