Bya Benjamin Jumbe
Omubaka we’ssaza lye Pingire Fred Opolot alaze okutya, nti okulonda kwa sipiika nomumyuka we, kwandireka nga kwabuluzaamu ekibiina.
Akabondo k’ekibiina kya NRM, kagenda kutuula amakya ga leero okusalawo ku ani gwebanawagira mu kulonda kwolunnaku lwenkya.
Okulonda sipiika nomumyuka we, kugenda kuberawo olunnaku lwenkya wabula olukiiko olwa CEC mu NRM, olunnaku lweggulo balemereddwa okukaanya era bazeemu okutuula amakya ga leero, ku lunnaku lwerumu nga nakabondo kekibiina kagenda kutuula.
Wabula bwabadde ayogerako naff, omubaka Opoloti agambye nti basaanye okutunuliira obusobozi.
Mungeri yeemu, ababaka mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11, basabiddwa okukola ennyo okutukiriza obweyamu bwebakoze eri abantu baabwe.
Bino webijidde nga palamenti egenda kubeera nolutuula lwayo olusooka olunnaku olwenkya.
Kati omubaka omukyala owa disitulikiti ye Sheema, Rosemary Nyakikongoro agambye nti basaanye okuteeka essira ku nsonga ezikwata ku bantu.
Ababaka 529 bebagenda okukiika mu palamenti eye 11.