Bya Ritah Kemigisa
Minisitule yebyobulamu eyise, olukiiko olwamangu olwaba memba abatuula ku kakiiko akatekebwawo okulwanyisa ssenyiga omukambwe, COVID-19 mu gwanga.
Wetwogerera ngabalwadde abasoba 1000 bebafunise mu wiiki emu, nga kino kikakasiddwa minisitule yebyobulamu nomulanga eri abantu okuddamu okunyweza obwerinde.
Abakugu bagamba nti bann-Uganda babadde balagajjala, ngebyokwetangira obulwadde babivaako.
Kati omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyobulamu Dr Diana Atwine agambye nti engeri gyewataliiwo lukiiko lwaba minisita, omukulembeze we’gwanga yalagidde watondebwewo akakiiko akekiseera okwekenneya embeera.
Kati olukiiko lugenda kutuula olwaleero nga lugenda kwetabwamu abekitongole kya World Health organisation, aba Centres for Disease Control and prevention nabalala.
Mungeri yeemu, Dr. Diana Atwine agambye nti abatambuze bangi abongedde okuzuulwamu akawuka ka coronavirus.
Atwine, olunnaku lweggulo yategezezza ngamalwaliro bwegazeemu okujjula abalwadde, nga tebakyalina webabateeka.