Skip to content Skip to footer

Museveni wa’kwogerako eri egwanga n’abantu 200 bebawona COVID-19

Bya Ivan Ssenabulya

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni agenda kwogera eri egwanga olwaleero ku mbeera yekirwadde kya ssenyiga omukambwe mu gwanga.

Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze we’gwanga kubyamwulire Linda Nabusayi, okwogera kwe kuno kugenda kutandika ku ssaawa 2 ezekiro era kwakulagibwa butereevu kuzi TV ne radio.

Mu bisubirwa, aganeda kwongera okulaga abirina okukolebwa okwekuuma nokutangira okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.

Wabula kinajjukirwa nti mu kwogera kwe okwasembayo nga 6 June, yalangirirra ennaku 42 ezamateeka nebiragiro ebijja.

Muno yaggala amasomero namatendekero aga waggulu, amasinzizo, nasiba nentemabula eyolukale esala ensalo za disitulikiti n’ebirala.

Olunnaku lweggulo werwatukidde nga Uganda erina abalwadde emitwalo 6 mu 7, 215 nabakafa bawera 542 songa emitwalo 4 mu 8,823 bebakawona.

Mungeri yemu, waddenga emiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe mu gwanga gyeyongedde, waliwo essuubi nti bangi era bawona nebasuuka ekirwadde kino.

Ebibalo wabula era biraga nti bannaUganda abali mu 200 bebasuuka buli lunnaku, okuva emabagombe nga kitregeeza nti omuwendo gwabakawona nagwo guyimiridde ku mitwalo 4 mu 8,823.

Okusinziira ku Dr. Bruce Kirenga, akulira ttabi lya Makerere University Lung Institute, ebintundu 40% abalwadde ba ssenyiga omukambwe abayi bebawona.

Ebibalo era okuva mu minisitule yebyobulamu biraga nti 40-50%, bawona okuv mu waadi zabalwadde abayi.

Leave a comment

0.0/5