Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagenze mu luwummula oluvanyuma lw’okuyisa embalirira y’eggwanga
Bano okudda nga betegekera kwogera kwa mukulembeze w’eggwanga okugenda okubaawo ku lw’okuna
Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Olanya agambye nti ababaka babawaddemu obudde okuwummula bakomewo ku kwogera kwa pulezidenti nga bali kalaso
Ono wabula agambye nti okwogera kuno okugenda okubeera ku Conference center kwakubaawo mu by’okwerinda kasiggu olw’abatujju abazze beewera
Olanya agambye nti ababaka tebajja kukkirizibwa masimu, Ipad ne laptop zaabwe
Okwogera kwa pulezidenti kubaawo wiiki emu ng’embalirira tennaba kuyisibwa