Ssabaminista w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda atenderezza eyali omukulembeze w’eggwang lya Tanzania Julius Nyerere gw’ayogeddeko ng’omusajja enjasa biggu ate omukkakkamu
Ng’ayogerera mu missa y’okusabira Nyerere, Dr Rugunda agambye nti Nyerere yakolera nnyo emirembe ate nga yabudamyanga nebannayuganda bangi abayiggibwanga Idi Amin Dada
Nyerere yalangirirwa mu lubu lw’abesiimi mu mwaka gwa 2009 era ng’olwaleero namwandu we Maria Nyerere abadde ku mikolo gy’okumujjukira
Bbo abatwala ekiggwa ky’abajulizi ekye Namungongo bamativu nti amazzi agatereddwa mu bifo ebisinga obungi mu kiggwa kino gakwongera okukuuma ekifo nga kiyonjo.
Ekitongole ky’amazzi mu ggwanga kyatadde taapu mu bifo ebisinga obungi e Namungongo.
Atwala ekifo kino Father Mukasa Muwonge agambye nti amazzi gano gakwongera okuyonja obuyumba obukyamirwamu, wamu n’okuyamba abalamazi okunaaba.
Ono era agambye nti amazzi gano gamugaso nyo singa omuliro guba gubaluseewo.