Waliwo abafumbo abalala abakubye eddwaliro lye Mulago mu mbuga z’amateeka lwakukyusakyusa mwana waabwe nebabawaamu omulambo gw’omwana omuwala
Saudah Nabakiibi ne Farouk Bukenya bagamba nti bazaala omwana waabwe nga 13 July 2006 era ng’eyabazaazisa ye Dr. Asinja Kapuru.
Omukyala ono agamba nti omwana we gweyazaalira ku kiso bamutegeeza nti yali afudde nebamuwa omulambo gw’omuwala era nebamuziika
Ono wabula agamba nti wabula oluvanyuma lw’ennaku bbiri bakebera ku biwandiiko by’eddwaliro nga biraga nti omukyala ono yali azadde mwana mulenzi.
Bano ensonga eno bagitwala mu kakiiko akakwasisa abasawo empisa era omusawo eyamuzaazisa n’akkiriza nti mu butuufu omukyala yali azadde mwana mulenzi kyokka nebamukaka okukyuusa bamuweemu omuwala
Okunonyereza kwa poliisi nakwo kwalaga nti waliwo omulambo ogwaziikibwa gwaali tegukwatagana na bazadde bwebakola DNA
Akakiiko akakwasisa abasawo empisa era kakaliga Dr Kapuru okumala emyaka 2 nga takola busawo olw’okweyisa mu ngeri etasaana
Kati bano bagaala poliisi ebawe ebiwandiiko byeyakozesa mu kunonyereza okusobola okunoonya omwana waabwe omulenzi eyakyusibwa kubanga omusawo yabakakasa nti mulamu