Bya Damali Mukhaye,
RCC wa Kampala Hussein Hudu agugumbudde akakiiko ka basawo aka Uganda Medical Council olw’okwefuula kyesirikidde nga amalwaliro ag’obwannanyini ga nyaga bannauganda abasangibwa ne kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Kino kidiridde bannauganda okwekubira enduulu olwa malwaliro okubasaba ensimbi eziwera obukadde 5 buli lunaku omulwadde wa covid lwasuze mu ddwaliro.
Kyokka amawulire galaga nti abalwadde ne bwebafa amalwaliro garemera emirambo okutuusa ngensimbi zonna ezibanjibwa zifuniddwa.
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala Hudu alaze obwenyamivu okulaba nti akakiiko akatwala abasawo aka Uganda Medical Council tekanavaayo kuvumirira mbeera eno.
Mungeri yemu Hudu atubuulidde nga gavt bwetdewo ambulance 18 okutambuza abalwadde ba covid na balala mu malwaliro gomu kampala kiwewule ku KCCA erina ambulance 5 kyokka nga 3 zezikola zokka.