Bya Prossy Kisakye
Gavumenti ng’eyita mu kitongole kya National Medical stores bawereza obuuma obukebera ekirwadde kya covid-19 obusoba mu emitwalo 30000 busasanyizibwe mu malwaliro gonna, abantu bakeberebwe kubwerere.
Amyuka akulira ebyobulamu mu district ye Wakiso Dr David Ssekaboga alabudde abantu obutamala gagenda nga bamira eddagala kuba lyalinafuya emibiri gyabwe
Ssekaboga asinziide wano era nalabula abasawo mubulwaliro bweddagala, obutali bwa gavumenti, obutageza kujanjaba bantu kubanga abantu balina okugendayo nga bamaze okukeberebwa oba sikyekyo bakukwatibwa.
Akulira akakiiko akalwanyisa ekirwadde mu district eno era nga ye RDC, Justine Mbabazi, bwabade akwasibwa obuuma buno okuva mu National Medical Stores , agambye nti ayagala kulaba nga bbuli muntu bamukebera kubwereere.