Bya Prossy Kisakye
Omukulembeze weggwanga YK Museveni ategezeza nga Uganda bweyali egudde na ddala mu byenfuna ne byenkulakulana kko námaggye wabula ekibiina kye ekya NRM kyekyeyamba okumbulula eggwanga lino bweyatwala obuyinza
Okwogera bino yasinzidde ku kisaawe e kololo mu kulayiza ba minisitabe 29 nababeezi babwe 52
Museveni yagambye nti eggwanga lino likulakulanye emirundu 31 okuva lweyava munsiko mu 1986.
Agamba nti ebyenfuna byeggwanga bikuze okuva ku buwumbi bwa doola 1.5 okudda ku buwumbi 40
Enkulakulana eno Museveni yagitadde ku kweyongera kwe bintu bye tutunda emitala wamayanja.
Museveni era agamba nti wetunatukira mu mwaka gwa 2026 ebyenfuna bye ggwanga lino byakwongera okukula okutuuka ku buwumbi bwa doola 70.
Mungeri yemu pulezidenti yategezeza nga bwasobodde okutuuka ku buwanguzi buno yadde nga azzenga afuna okusomozebwa okuva eri bannabyabufuzi na bakozi ba gavt abamu