Skip to content Skip to footer

Abavubuka, aba boda, abataxi, ne bamaama abatalina baami bebagenda okufuna ensimbi za covid

Bya Damali Mukhaye

Gavumenti enokodeyo abavubuka mu kibuga Kampala ne maama abatalina baami okuba abamu ku kibinja kya bantu 4 abagenda okudukirirwa nobuyambi bwensimbi enkalu zibayise mu muggalo gwa covid-19.

Okusinzira ku RCC wa kampala Hussein Hudu, abalala abagenda okufuna ensimbi kuliko abavuzi ba bodaboda na bataxi.

Ssabaminisita Robinah Nabbanja nabakungu ba minisitule eye kikula kya bantu olunaku olwalweero basuubirwa okulangirira omuwendo gwe ensimbi ezigenda okuweebwa abantu bano.

Wabula RCC Hudu attiddemu nti abantu abatalina kuganyulwa mu nteekateeka eno bandyefuga olukalala.

Bwatyo asabye abakulembeze be byalo okuwaayo abantu bokka abeetaaga okudukirirwa.

Gavt yavaayo ne ntekateeka eyokudukirira abantu abali obubi mu muggalo guno nge bawaayo ensimbi okuyita mu masimu gabwe ate abatali ku mobile money zakubaweebwa mu buntu.

Leave a comment

0.0/5