
Bannayuganda balabuddwa okubeera abegendereza enyo eri embera y’obwongo bwabwe n’obwabalala.
Omulanga guno wegujidde nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza wiiki y’ebyobwongo etandikamokuva leero nga 5 okutuusa nga 10 October.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta ababudabuda abantu mu Uganda Ali Male says ategezezza nga abantu bwebalina okwegendereza naddala nga bali ku mirimu era beyune amalwaliro okubakebera.
Agamba abantu okunyooma okubudabudibwa kiviriddeko bangi endwadde z’obwongo sso nga zisobola okwewalika.