
Poliisi ye Sembabule eriko omusajja ow’emyaka 35 gwekutte lwakugezaako kutta kitaawe.
Francisco Malinde omutuuze ku kyalo Lutunku y’akwatiddwa oluvanyuma lw’okulumba kitaawe Gerald Bbale n’effumu amutte lwakugaana kuwa nyina nyumba.
Abatuuze bebaddukiridde muzeeyi Bbale oluvanyuma lw’okulaya enduulu nga omutabani amutta.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza okukwatibwa kw’omuvubuka ono nga era wakuvunanibwa gwakugezaako kutta Muntu nga okunonyereza kuwedde.
Ono alabudde abantu okweyuna poliisi n’amakooti okugonjla obutakkanya bwabwe mu kifo ky’okutwalira amateeka mu ngalo.