Amawulire

E Pallisa balemereddwa okujanjaba aba covid-19 abali ewaka

E Pallisa balemereddwa okujanjaba aba covid-19 abali ewaka

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Abatwala ebyóbulamu mu disitulikiti eýe Pallisa balemeredddwa okutuusa obujanjabi ku balwadde ba covid-19 abali ewaka era kati basazeewo okuteekawo ekifo webanabajanjabira ekyawamu.

Bino byogeddwa akulira eddwaliro ekkulu erya  Pallisa Hospital, Dr.David okoth , nagamba nti bazze basanga okusomozebwa mu kutuusa obujanjabi eri abalwadde abali ewaka naddala mu kubolebwa nabalwadde benyini

Ono agamba nti mu disitulikiti eno balina abalwadde ba covid 300 era kibaberedde kizibu okulondoola obulungi abo abajanjabirwa ewaka kuba tebalina ntambula ya basawo okusobola okutuuka ku balwadde babwe nentambula eyongerayo abali obubi ku ddwaliro lya gavt e mbale.

Mungeri yemu Dr Okoth atubuulidde nti mu ssabiiti eyise omuwendo gwa bakwatibwa ekirwadde gukendeddemu