Skip to content Skip to footer

Ensimbi z’ababaka zisigaleyo- ababaka abamu

File photo: Ababaka ba Palimenti
File photo: Ababaka ba Palimenti

Ekiteeso kya palamenti okwongeza ensimbi ezisasulwa abesimbawo okukiika mu palamenti kikyajjamu abantu omwasi.

Olunaku lwajjo, palamenti yasazeewo nti buli ayagala okufuuka omubaka alina okusasula obukadde busatu okuva ku mitwalo abiri agabadde gasasulwa

Ababaka okuli Lulume Bayiga,Hassan Caps Fungalo ne Simon Mulongo bagamba nti kino kigenda kulemesa abavubuka okukiika mu palamenti n’okulemezaayo abakadde.

Bano basabye pulezidenti obutassa mikono ku byayisiddwa.

Leave a comment

0.0/5