Skip to content Skip to footer

Nebanda awangudde

nebandaMunna NRM Andiru Florence Nebanda awangudde akalulu ke butalejja okudda mu bigere bya baaba we Cerinah Nebanda

Munna NRM yawangudde n’obululu obuweza mitwaalo ebiri mu kasanvu ate ng’owa FDC yavuddeyo n’obululu enkumi ssatu.

Abawagizi ba Nebanda ekiro kyonna basuze bajaguza nga bakuba embuutu n’okuzina akadodi kko n’enyimba eziwaana NRM.

Nebanda yaawangudde banne abalala b’abadde yesimbyeewo nabo okuli Betty Hamba, Sarh Logose,Perusi Manaaba, okwo kw’ossa owa FDC  Felistus Namuhiriri.

Ekifo kino kyafuuka ekikalu oluvanyuma lw’okufa kwa Cerinah Nebanda mu ngeri etategerekeka.

 

 

Leave a comment

0.0/5