
Akulira ekitongole ky’enguudo ekya UNRA Allen Kagina alagidde nti abantu bonna abakosebwa okugaziya oluguudo lwa Northern Bypass basasulwe mu bwangu.
Ng’alambula oluguudo luno oluli mu kukolebwa, Kagina agambye nti bano abawadde emyezi ebiri okusasula abo bonna abagenda okukosebwa olwo omulimu gutambula nga tewali kusibamu.
UNRA yapatana ne kkampuni ya Motaengil Africa okukola oluguudo kyokka nga bano bagamba emirimu gyesiba kubanga waliwo ababanja
Kkampuni endala eya Associated Engineering Surveyors Company yeeyapatanibwa okweruula ekifo kyokka nga tebannaba kubanga waliwo ababanja.
Kagina agamba nti ssinga omulimu ogwo gukereere wa, kyandifiiriza gavumenti ensimbi ng’esasula amagoba eri abakola.