Amawulire
Amaje g’America daaki gavudde mu Afghanistan
Bya Musasi Waffe
Oluvanyuma lwemyaka 20, nga bakuuma emirembe nokutereeza egwanga lya Afghanistan, amagye ga America daaki gavudde mu gwanga lino.
Olwaleero ye ssale ssale eyakanyizbwako era eyalangirirrwa pulezidenti w America Joe Biden, okuva mu Afghanistan.
Gen Kenneth McKenzie, yalangiridde gyebuvuddeko nga bwebavuddeyo.
Eri aba-Taliban kubadde kujaganya nga bayingira ekisaawe kye Kabul, America ne Bungereza kyebabadde bakyakuuma.
Ebifananyi nobutambi biraze ngaba-Taliban bawandagaza amasasi mu bbanga.
Oluvanyuma lwamagye ga America agasembayo okusitula nebava mu Afghanistan, bannansi babadde bakyasigadde nga bayayana okufuluma egwanga basaze okuyita wansi nebaingira mu gwanga lya Pakistan.
Kino kivudde ku nnyonyi ezmawanga gebweru, zonna okugenda obutadda.