Amawulire
Omuwala eyasobezebwaako aba pakistani akyaali bubi
Ababaka ba palament abakyala nate bazzeemu okusaba okufulumizibwa kwa alipoota ekwata ku muwala eyakakibwa omukwano ng’abakikola bannansi ba Pakistan
Kino kiddiridde ababaka bano okukyalirako omuwala ono agambibwa okuba nga yasuulibwaawo bannabibiina by’obw annakyeewa abaali bakola ku nsonga ze
Omubaka akiikirira ekibuga kye Mbarara Emma Boona atugambye nti tewali kubuusabuusa poliisi esaana etegeeze bana Uganda weetuse mu kunoonyereza ku nsonga eno.
Ono agamba nti omuwala ono akyatya nnyo okuddamu okulumbibwa aba pakistani abalumba era nga yetaaga kuyamba.
Bbo ab’ekibiina kya Action Aid ababadde balabirira omuwala ono beeganye eby’okumusuulawo nga bagamba nti yeeyasaba nti bamutwale ewa jjajja we e Mbarara