Bya Malik Fahad.
Omukulembeze we gwanga Yoweri kaguta Museveni awadde amagezi abakulembeze b’ebibuga eby’enawulo okufuba okulaba nga bayiiya engeri gy’ebafunamu ensimbi ez’okudukanya emirimo gyabwe, mukifo ky’okusabiriza government.
Kuno okuwabula Museveni akukoledde masaka bwabadde agulawo tabamiruka w’abakullira ebibuga eby’enjawulo ebagatura mukibiina kyabwe ekya Urban Authorities Association of Uganda ababade bakunganidde wali ku Hotel brovad.
President asabye abakulembeze bano okufuba okutondawo emirimo egigenda okubayamba okumalawo ekizibu ky’abavubuka abasomye, kyoka nga tebalina kyakukola.
Ku nsonga y’ekiragiro eky’okukendeeza ku misolo egigibwa kuba Taxi, president agambye nti ensimbi zino zaali nyingi ebitagambika kale nga kyeyakoze alaba nga kyamakulu okuzikendeeza okuva ku mitwalo 12 okudda ku mukaaga.