Bya Steven Ariong.
E Karamoja abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo olunaku olw’egulo baasibye mukafubo ak’enjawulo nga bateesa kubutya bwebagenda okulwanyisa abalunzi aba Turkana abava mu Kenya nebanyaga ente mu Karanoja.
Olukiiko luno lwayitiddwa aduumira amaggye ge gwanga Gen. David Muhoonzi , minister we Karamoja Eng John Byabagambi ,kko nabakulira ekibinja ky’amagye eky’okusatu e Moroto.
Bano webaviirideyo nga abalunzi bano basala nebajja mu uganda kubba ente, era nga gyebuvudeko amagye ga UPDF gatako omulunzi omu, ko n’okununula ente ezisoba mu 33 zebaali babye.
Mu kaseera kano Karamoja esuza abalunzi abaduka mu Kenya abasoba mu 70,000 nga bano bajja n’ente ezisoba mu mitwalo 100,000.