Amawulire

Abadde atema ebitoogo afiridde mu mazzi

Abadde atema ebitoogo afiridde mu mazzi

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Walyabira mu gombolola ye Nawaikoke mu disitulikiti ye Kaliro omusajja abadde agenze okutema ebitoogo, bwagudde mu lusaalu nafiramu.

Omugenzi ye Mathias Walya, ngabadde mutuuze ku kyalo kyekimu.

Amyuka ssentebbe wekyalo kino Yeko Baburi agambye nti omugenzi eno, gyaaddenga ajja ebintu byakozesa emikeeka gyataunda okufuna ssente.

Omulambo gwe baaguzudde oluvanyuma lwaboluganda okumunoonya okumala ebbanga.