Amawulire
Amasomero gaalinyisizza obubonero eri aba S1 ne S5
Bya Damalie Mukhaye
Okusunsula abayizi abanayingira S1 ne S5, olwaleero kuyingidde olunnaku olwokubiri.
Wabula wabaddewo okulinyisa obubonero eri amasomero agasinga kwebayingiriza abayizi.
Kino abmasomero abasinga bakitadde kungeri abayizi gyebakolamu obulungi ebigezo byekyomusanvu nebya S4 ebyomwaka oguwedde, 2020.
Juliet Atuhirwe, omukulu wessomero lya Bweranyangi Girls SS agambye nti mu S1 bayingiza abaafuna obubonero 7 nokudda wansi atenga ku S5 bagala abaafuna obubonero 21 nokudda wansi.
Ono agambye nti bayizi 2,200 ababkola PLE abaali basaba okwegatta ku ssomero lino, baakirizaako 200 bokka.
Kiira College Butiki aba S1 bagala abaafuna obubonero 8 atenga aba S5 bagala baafuna 22.
Sacred Hearts SS bayingiza abayizi abaafuna obubonero 12 mu PLE ne 39 mu UCE.
Ate minisita owebyenjigiriza ebya waggulu Dr. John Chrysostom Muyingo asabye abakulu bamsomero bonna mu gwanga, okutandika okudabiriza amsomero gaabwe, nga betegekera okuggulawo mu January.
Muyingo, agambye nti babadde balambula amsoemro naye agasinga baagasanze mu mbeera ssi nnungi, kubanga gabadde gaalekebwawo okumala ebbanga.
Amsomero agasinga gabadde mu muggalo, kyenkana myaka 2 okuva ssenyiga omukambwe lweyayingira mu gwanga.
Ssabawandiisi wekibiina ekigatta abasomesa mu gwanga ekya Uganda National Teacher’s Union(UNATU), nga ye Filbert Baguma abaddenga yekuba ku gavumenti gyebuvuddeko okuta ssente eza capitation grant ezikozesebwa okudabiriza amasomero.
Ono era abadde agamba nti amasomero agasinga gabiddwa buli kintu obutasigaza, kubanga gabadde tegakyakumibwa.