Amawulire

Eddwaliro lye Kawempe litubidde nabaana bebasudde

Eddwaliro lye Kawempe litubidde nabaana bebasudde

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Eddwaliro lyabakyala erye Kawempe litubidde nabaana 2, bebabasuliidde.

Abaana bano baazaliddwa abaana abatanetuuka, atenga babazadde babulako wabula bwebabatutte nursery ba maama nebemulula.

Bwabadde ayogerako naffe, akulira eddwaliro lino Dr Nekemiah Katusiime agambye nti kino kya buli lunnaku nga buli wiiki waberawo abaana bebabsulira.

Agambye nti bagenda kukola okunonyereza okuzulira ddala ensonga eziviriddeko okusuula abaana okweyongera naddala mu kiseera kya ssenyiga omukambwe.

Wiiki ewedde omubak omukyala owa disitulikiti ye Tororo, yalaga okutya olwaababaka banaabwe abasajja abazaala wano na wali ne wabweru wobufumbo.

Amyuka sipiika wa palamenti Anitaha Among yalabula okwasanguza ababaka abazaala mu bakazi nebatabalbirira.