Amawulire
Emiwendo gyabalwadde ba COVID-19 gyakwongera okulinnya
Bya Ivan Ssenabulya
Emiwendo gyabalwadde abappya aba ssenyiga omukambwe mu Uganda gyongedde okulinnya, mu wiiki eyokusattu eyobulwadde.
Okusinziira ku kitongole ekitegekera egwanga, National Planning Authority, wiiki ewedde emiwendo gyabalwadde gyekubisizaamu emirundi egisoba mu 5.
Mu wiiki gyetulimu, eyanga 26 Decemba okutuuka nga 1 January 2022, ekitongole kiragudde abalwadde 560 mu kubala okwangu buli lunnaku atenga wiiki wenagwerako ngabalwadde baweze 3,900.
Abraham Muwanguzi, yakulira ebya sayansi mu NPA, agambye nti mu wiiki yanga 2 okutuuka nga 8 January 2022, abalwadde aba buli lunnaku bakweyongera buli lunnaku abalwadde 600 mu wiiki awamu babeere abalwadde 4,200.
Mu Africa awamu, South Africa yekulembedde mu kubeera nabalwadde abangi nga mu wiiki bafuna abalwadde emitwalo 11 mu 5,000 nekuddako Zimbabwe, Kenya namawanga amalala.
Uganda eri mu kifo kya 17 atenga munsi yonna America USA yekulembedde.
Amawanga amalala agali obubi kuliko France, Italy, Spain, Switzerland, Denmark, India ne South Korea.