Abantu ba Ssabassajja basabiddwa okuba abamalirivu nga basonda ettofaali ly’okuddabiriza enyanja ya Kabaka esangibwa mu Ndeeba .
Bino byogeddwa amyuka Katikkiro asooka era nga ye minisita w’ensonga z’ebweru w’egwanga Ambassodar Emmanuel Ssendawula.
Bw’abadde alambuza obuganda omulimu gw’okuddabirizza enyanja eno owekitiibwa Ssendawula ategezezza nga omulimu guno gwakolebwa bamusiga nsimbi mu ggwanga n’ebweru gusobole okuggwa mu bwangu.
Asabye abantu ba ssabasajja abesenza ku ttaka lino okutandiika okusenguka.
Mulimu guno kuliko okuteekawo ekiriiro ky’emmere eky’omulembe,awakolebwa duyiro,enimiro z’okuwumuliramu wamu nebirala eby’omulembe.
Mu kiseera kino okupima ettaka lyonna n’okulamba weriyitta kwawedde dda.